Indirimbo ya 25 mu CATHOLIC LUGANDA

25. ATENDEREZEBWE KATONDA


1.Atenderezebwe….. atenderezebwe
Atenderezebwenga Katonda oyo.
Tutti: Kitaawe wa Yezu Mukama waffe
Atenderezebwenga emirembe
Atenderezebwenga emirembe.
2.Kubanga Yatweroboza, nga n‟ensi tennatondebwa,
Yatweroboza nga n‟ensi tennatondebwa
3.a) Okuva ddi….
Nga n‟ensi tennatondebwa.
Mu masooka… ,, ,,
4.b) Wa kisa nnyo.. ,, ,,
Ye Kitaffe ….. ,, ,,
5.c) Ng‟atuganza ,, ,,
Okuyinga ,, ,,
6.d) Yatuwa nnyo ,, ,,
Ebirungi ,, ,,
7.Tubeere batuukirivu …
Tubeere batuukirivu …
Tubeere batuukirivu …
Abatalina na bbala …
Tutti: Mu maaso ge …
mu maaso ge.
8.Bass: Nga yateekateeka, mu mutima gwe omusaasizi
Sopr: Yateekateeka … mu mutima gwe omusaasizi
Yateekateeka, mu mutima gwe omusaasizi
(Tutti) Ng‟omutima gumuli ku Kristu x2
Omwana we mwe yatweroboza,
n‟atufuula baana ffe abantu.
9.Ffe abantu tuli baana be ddala ddala
Mazima ffenna tuli baana be
Mazima ffenna tuli baana be ddala ddala,
Ddala ddala ffenna tuli baana be.
10.Bass:
Tuli baana be ffenna oyo Kristu be yalondamu …
Tuli baana be, tweyanze Taata …
Ddala ffenna tuli baana be.
11.b) Tuli basika ffenna oyo Kristu y‟atukulira …
Tuli baana be ; tweyanze Taata …
Ddala ddala ffenna tuli baana be.
12.c) Tuli bayise ku nsi ffe Kristu y‟atutambuza …
Tuli baana be n‟atuzza ewaffe …
Ddala ffenna tuli baana be.
13.d) Tuli bagumu ffenna oyo Kristu be yalondamu …
Tuli baana be, anti yasiima …
Ddala ffenna tuli baana be.
14.e) Tulituukayo ffenna eyo Kristu gye yatulaga …
Tuli baana be, Kitaffe alinze …
Ddala ffenna tuli baana be.
(Atenderezebwe No. 1 yokka)
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 25 mu Catholic luganda