Indirimbo ya 27 mu CATHOLIC LUGANDA
27. ATYA OMUKAMA
Ekidd: | |
: Atya Omukama yeesiimye, Ebiragiro bye bimusanyusa nnyo. x2 | |
1. | Ezzadde lye muno mu nsi liribeera n‟obuyinza bwawufu N‟olulyo olwo olw’abatereevu, luliba lwa mukisa. |
2. | Ebintu n‟obugagga biriba mu nnyumba gy‟afuga, Taatyenga kugaba, omutereevu. |
3. | Abatereevu mu kiro kiri abaakira okukira ettawaaza, Ye musaasizi ow‟ekisa ekitakoma, omutuufu wonna. |
4. | Oyo omuntu asaasira era n‟awola ali bulungi ow‟ekisa, Atetenkanya ebintu bye mu bwenkanya, aliba mirembe |
By: Fr. James Kabuye |