Indirimbo ya 274 mu CATHOLIC LUGANDA

274. OMUTIMA GWA YEZU


1.OMUGANZI W’EMYOYO (W.F.)
1. Omwoyo gwa Yezu ogwaka
Okwagala abantu,
Nneegomba abakitegedde,
Bonna bagwagale.
Ekidd:
: Omutima gwa Yezu,
Tugwagalenga nnyo.
Gye buva ne gye bugenda,
Bonna bagwagale,
Gye buva ne gye bugenda,
Bonna bagwagale.
2.2. Yajja ku nsi okukola
Ebyokunjagala,
Nnaasanga wa anaanfiirira
Ng‟ono bwe yankola?
3.3. Sso bangi bajenga batyo
Mu bitaliimu nsa,
Bakaabya Omwagalwa atyo
Nga bamujeemera.
4.7. Komyawo abajeemu bonna,
Kunga abakafiiri;
Eklezia abe omu yekka
Abatuusa gy‟oli.
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 274 mu Catholic luganda