Indirimbo ya 275 mu CATHOLIC LUGANDA
275. TUDDAABIRIZE YEZU KRISTU
1. | 1. Ennaku zamubonyaabonya, 2. Abalabe bwe baamukwata, Nga yewadde ng‟omutango Baamutwala nga musibe; Bwe zayinga ne zimukaabya, Yezu yamala gakkiriza Yamala gaguma omwoyo. Asasule ebibi byaffe. Ekidd.: Tuddaabirize Yezu Kristu Eyatwagalira ddala, Ku lwaffe yasoggwa n’effumu N’awaayo Omusaayi gwonna. |
2. | 3. Ne bamutuusa ewa Pilato Baamuvuma, baamukiina; Yezu nga tabaddamu kigambo N‟atabanakuwalira. |
3. | 4. Ku mutwe baamussaako omuge, Ogw‟amaggwa amawanvu; Baamukuba, baakeesa obudde Amaanyi ne gamuggwamu |
4. | 5. Ne bamutikka Omusaalaba Ogw‟omuti omuzito Gwamumenyaamenya amabega Nga bwe gumukuba ebigwo. |
By: W.F. |