Indirimbo ya 281 mu CATHOLIC LUGANDA

281. YEZU WAFFE NG’OTWAGALA


1.1. Yezu waffe ng’otwagala!
Ffe ffenna watulokola
Watuzaalirwa mu bwavu
Ffenna tugende mu ggulu.
2.2. Yezu waffe ng’otwagala!
Ffe ffenna watufiirira
N’otuggulira Omutima
Gubeere ensulo y’enneema.
3.5. Yezu tuwe tukwagale,
Fuulanga emitima gyaffe
Mikkakkamu, miwombeefu
Gikuweereze n’essanyu.
By: W.F.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 281 mu Catholic luganda