Indirimbo ya 3 mu CATHOLIC LUGANDA

3. EMBUGA ZO NNUNGI


Ekidd:
: Embuga zo nnungi Mukama wange,
Embuga zo nnungi Mukama wange,
Aa! Ntwala eyo gye mba mpummulira nga nkutenda.
1.Twesiimye nnyo abaana b‟enngoma ffe abaana bo olwa Batismu,
Tweyanzizza Mukama waffe,
ffe b‟oyise mu kutambira.
2.Luno lwe lunaku olw‟Omukama,
tumutende ffe mu nnyumba ye,
Wamma tumutende Mukama waffe,
mu Yeruzalemu wakati.
3.Ka nngende ku Altari y‟Omukama,
Kawamigero oyo eyatutonda,
Mujje tumutende
Katonda Kitaffe tumwebaze.
4.Ffenna twegatte wamu ne Kristu,
Omutambizi ow‟oku ntikko
Y‟oyo Kristu eyatununula ku musaalaba,
ng‟atufiirira.
5.Ffe abateesobola,
Taata yamba otutukuze tukusanyuse,
Tulyoke tutambire wamu ne Kristu
Omwana wo omu eyatununula.
By: Lukyamuzi



Uri kuririmba: Indirimbo ya 3 mu Catholic luganda