Indirimbo ya 300 mu CATHOLIC LUGANDA
300. AVE MARIA
1. | 1. Ave Maria nzuuno nkutenda Ggwe eyazaala Yezu waffe Wulira ennyimba Nnyaffe omulungi, Zo zigeza okulojja bw’oli. Ekidd.: Mmange nkutenda, Nnyabo nkuyimba, Ng’oli mulungi, azaala Yezu. |
2. | 2. Ave Maria Mmange Omutiibwa, Nzuuno nnyimba siwummula Enkya, mu ttuntu ntenda ggwe Nnyaffe, Ntuusa ekiro nga mbuuza Mmange. |
3. | 3. Ave Maria yamba nzije eyo. Nange nkutuuke, gy’oli eyo. Mu bulamu tube ffembi naawe, Ku olwo nga nfa, jangu ontwale nze. |
By: M.H. |