Indirimbo ya 303 mu CATHOLIC LUGANDA

303. AYI MARIA OMUTIIBWA


Ekidd:
: Ayi Maria Omutiibwa,
Omuyambi ow’ekisa:
Tukutenda ne tukwewa,
Ggwe oli Nnyaffe omwagalwa.
1.1. Ggwe mukyala
Eyatuzaala
Eri ku Kalvariyo;
Tuneewanga buli bbanga
Nnyaffe atalituvaako.
2.2. Era Nnyabo,
Beera ngabo,
Ngabo y’abavubuka;
Obabeere batereere
Mu kukemebwa kwonna.
3.5. Bwe tugenda
Mu luwenda
Oluva mu nsi muno:
Nnyaffe, yamba
Okulusamba
Tuzze mu mikono gyo!
By: M.H.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 303 mu Catholic luganda