Indirimbo ya 309 mu CATHOLIC LUGANDA
309. EBYOKUNYOLWA
Ekidd: | |
: Ebiwundu ebya Yezu, Ayi Maria obyolanga, Mu myoyo gy’abaana bo. | |
1. | 1. Yezu yalumwa n’anyolwa, olw’ebibi by’aboonoonyi, Abagaana okwenenya. |
2. | 2. Eyakubwa omwagalwa, eyalumwa okubeera ffe: Tufunire okwenenya. |
3. | 3. Amaggwa gaamufumita, Omusaayi gwatiiriika, Yezu wange omwagalwa. |
4. | 4. Ne yeetikka Omusaalaba, omuzito okubeera nze: N’ogwange ngutwalenga. |
5. | 5. Yezu ng’ali awo alengejja, yasasula ebibi byaffe: Ka tujjule okwenenya |
By: W.F. |