Indirimbo ya 315 mu CATHOLIC LUGANDA
315. MARIA GGWE MMUNYEENYE
1. | YAFFE EY’EVANJILI (Fr. Expedito Magembe) Maria ggwe mmunyeenye yaffe mu kukkiriza, tunyweze ffe abaana bo. Mmunyeenye yaffe ey’Evanjili, tuwe ekitangaala eky’obulamu. Mmunyeenye yaffe ey’Evanjili, oli ttawaaza yaffe mu kukkiriza. |
2. | 1. Ggwe wazaala oli gwe baalinda, ggwe wazaala oli gwe baalanga -Messiya Oli Nnamukisa mu batonde era, Oli Nnamukisa mu baanunulwa – Maria. Mu kutondebwa yakweroboza n’akutaliza buli kibi kyonna – Maria. Wakkiriza Kristu afe alokole ffe aboonoonyi – Maria. N’akutukwasa ye ng’afa, okumeekume ffe abaanunulwa – Maria. Ekidd.: Mmunyeenye yaffe ey’Evanjili, Maria nkwekwasizza ndi mwana wo. x2 |
3. | 2. Wazaala Kristu Omununuzi era wazaala naffe abanunuddwa, Nnasenga Kristu Omununuzi, naawe njagala nkusenge mbeere wuwo, Nze ndayira ku lwange nga ndi wuwo, kyokka njagala okunyweza kye nkutte. Okuva obuto nze nga ndi mwana wo, naye ate njagala nkubeere mu mikono gyo. Ekidd.: ……. |
4. | 3. Nze ndi mwana wo Maria – Nze ndi mwana wo Nkwekwasizza, mu byonna onnyambanga. v Nkwekwasizza Maria – Nkwekwasizza Onsabiranga, bulijjo ew’Omwana wo. v Ew’Omwana wo Yezu – Gwe nnoonya Onnyambanga, mu byonna mmutuukeko. Ne mu bw’okufa Maria – Onnyambanga Onnyambanga, mu byonna mmutuukeko. Byonna obisobola Maria – Bye nkusaba Gw’ozaala, y’Oli nnannyini byo. Okuva obuto Maria – Onnyambye nnyo Mu biyise, mu byonna onnyambye nnyo. Bingi ebiyise mbirabye – Onnyambye nnyo Ggwe nneekola – Wekka onnyambye nnyo. Byandiremye omunaku – Ne mbulawo Byandiremye, leero ne mbulawo. Toba kubeera Ggwe – Ng’onnyamba nnyo Byandiremye, byonna ne mbyonoona. Kye nva nkusaba Maria – Kye nva nkusaba Mbeere mwana wo, bulijjo gw’owembejja. |
5. | 4. Bikira Omuzadde – nsaba nkubeere mu mikono gyo ng’ompanirira. Bikira Omuzadde – nsaba nkufaanane mu mpisa zo mbeere wuwo. Bikira Omuzadde – nsaba mmutuuke Omwana wo tubeere kimu. |
By: |