Indirimbo ya 328 mu CATHOLIC LUGANDA
328. NNYAFFE OW’AFRICA
1. | 1. Ye Ggwe Maria, omuzadde amakula, Asinga Ggwe abazadde bonna; Kuba Messiya, mu nda yo mwe yava. Wazaala Yezu otendwa Maria. |
Ekidd: | |
: Abafrica ffenna tukwewa, Tuyambenga Ggwe Nnyaffe ow’Africa. | |
2. | 2. Ye Ggwe Maria eyayamba Abatume, Luli Yezu ng’avudde ku nsi Ye Ggwe eyasaba, Mwoyo ajje agumye, Bonna Kristu oyo, be yajja okuyita. |
3. | 3. Luli abakulu lwe bajja gye tuli Wala nnyo eno mu nsi Africa. Ne bagikuwa, ensi eno na byonna, Ffenna Ggwe Nnyaffe tuyambe Maria. |
4. | 4. Ensi etabuse tuyambe tuwonye, Ffenna abaana jangu otubbule, Laba omulabe ajja atusaanyeewo Tuyambe Nnyaffe, tutaase abalabe. |
5. | 5. Leero Maria Uganda ekuyita, Juna nyweza eddiini wonna, Bonna abakulu, gwe beesiga ye Ggwe. Bakuume Nnyaffe, bataase Maria. |
6. | 6. Laba abanaku, bayambe Maria, Ggyawo endwadde wonna mu Africa, Juna abanaku, bawe akokulya Babeere kumpi, bayambe Maria. |
7. | 7. Laba Maria, abaana abanaku, Jangu Ggwe nnyaabwe bawambaatire, Bawe okuyiga nti: Yezu ye yekka, Afuula abaana, abalungi amayisa. |
By: Fr. James Kabuye |