Indirimbo ya 352 mu CATHOLIC LUGANDA
352. YOZEFU OW’EKISA
1. | 1. Yozefu ow‟ekisa, Tukukunngaaniddeko, Tutende bwe wayisa, Mu nnaku n‟emirimo: Ayi Yozefu. |
2. | 2. Yezu yakweroboza, Obeerenga Kitaawe, Omwoyo n‟agujjuza, N‟emikisa emironde. Ayi Yozefu. |
3. | 3. Wafumbirwa Maria, Ng‟owulidde ekigambo, “Ono mutwale totya. Abeere mugole wo”. Ayi Yozefu. |
4. | 7. Omuzigu bwe yafa, 8. Yezu bwe yasuumuka, Mwaddayo e Galilaya, N‟alyoka akusiibula, N‟obeerayo ng‟obajja, Naawe nno olwo kwe kufa Awamu n‟Omukama, N‟ogenda ewa Katonda. Ayi Yozefu. Ayi Yozefu. |
5. | 9. Yozefu, Omukuumi, Oli leero mu ssanyu Tuwe okukyawa ebibi Tukulabe mu ggulu Wamu ne Yezu. |
6. | 4. Kyaddaki ne mugenda, Mutuuse e Betelemu, Nnamasole n‟azaala, Omulokozi Yezu. Ayi Yozefu. |
7. | 5. Yezu ggwe wamulera, N‟omuwambatiranga, Katonda Mukama wo, Ng‟akuyita lya Ssebo, Ayi Yozefu. 6. Erode n‟ayagala, Okutta Omulokozi; Naye Ggwe bwe wamanya, N‟omuddusiza e Misiri. Ayi Yozefu. |
By: W.F. |