Indirimbo ya 358 mu CATHOLIC LUGANDA
358. EZABATUUKIRIVU
1. | 358. BENEDICTO OMUTUUKIRIVU (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Benedicto Omutuukirivu, Katonda yakuganza n’akulonda N’akuwa okole by’akutuma, abantu bamumanyenga. |
2. | 1. Olw‟obunyiikivu n‟obuzira; yakuyamba oyo Katonda N‟osobola okulambika Eklezia ayunga. |
3. | 2. Olw‟obunyiikivu n‟obuzira yakuyamba oyo Katonda N‟atuwa ffe abayuugayuuga ekkubo ly‟obutuukirivu. |
4. | 3. Tuyambe tuwe okumanya ekkubo ly‟obutuukirivu ly‟oyigiriza Tunywezenga amateeka agalunngamya omuntu. |
5. | 4. Katonda oyo ow‟ekitalo asaanira kutendwa obutoosa Eyatuwa mu ggwe, ekkubo ly‟obutuukirivu. |
By: |