Indirimbo ya 36 mu CATHOLIC LUGANDA
36. GWE NGOBERERA MMUMANYI
Ekidd: | |
:Gwe ngoberera mmumanyi, Katonda Lugaba mmumanyi gyali Gyali Katonda wange mmukkiriza gyali Gyali Katonda wange mmukkiriza nzenna. Talireka na muweereza we kuvunda, emirembe x2 | |
1. | Y‟ani oyo atamanyi Katonda, y‟ani oyo asaasirwe! Anti mu Katonda mw‟obeera mw‟okulira, Mu Katonda mw‟otambulira, Buli lukya,buli lukya Nnamugereka y‟abukeesa. |
2. | Y‟ani oyo atamanyi Mutonzi, eyajja atambirwe, Anti mu Katonda mw‟abeera mw‟akolera. Mu Kitaawe Ye mw‟asibuka. Ye Mwana, ye Kristu nsinza gwe mmanyi, ye Katonda. |
3. | Nze nsinza Katonda omwagalwa ennyo, Mwoyo oyo, atendebwe, Anti ye Katonda oyo ajja atugumye, ng‟atuyamba, ffe bulijjo. Mu kuyiga, mu kukola, Mwoyo gw‟olina y‟akubeera. |
4. | Ye Ddunda atuusa n‟endagaano, atuusa buli kimu, Anti ye Katonda, ye Lugaba, mwe tufunira, buli kantu. Buli ssanyu, buli nnaku, Nnamugereka y‟atunyweza. |
5. | Mujje mmwe abaana ba Katonda, mujje mmwe tumweyune, Anti ye Katonda bwe bulamu, ye mugabe mw‟owonera. Buli lukya, atuyita, Nnamugereka y‟atutaasa. |
6. | Ggwe Ddunda olwaleero nkusiima, Ggwe Mwana, Mwoyo wamu, Anti ye Katonda oyo ajja, bwe bulamu, mu mutima gwo mubeera wamu. Buli lukya buli lukya, Nnamugereka y‟akutwala. |
By: Fr. James Kabuye |