Indirimbo ya 366 mu CATHOLIC LUGANDA
366. AGGYA MU KISA KYE N’ALONDA
1. | (Fr. Expedito Magembe) 1. Buli Kabona aggyibwa mu bantu – Buli Kabona aggyibwa mu bantu Buli Kabona aggyibwa mu bantu – Buli Kabona aggyibwa mu bantu x2 Buli Kabona aggyibwa mu bantu n‟assibwawo ku lwabwe Okuweereza ebirabo byabwe ewa Katonda. |
Ekidd: | |
: Tiwali kwesaanyiza bwakabona – tiwali Tiwali kwesaanyiza buweereza – tiwali Tiwali kwesaanyiza bwakabona – tiwali Ye gw’aba ayagala gw’alonda – tiwali Nga bwe yayita Aroni bw’alonda – tiwali Ne bw’oba mulungi otya – tiwali Ne bw’oba mugagga ku nsi – tiwali Ne bw’oba n’ebitiibwa byonna – tiwali Nga bwe yayita Aroni bw’alonda – tiwali | |
2. | 2. Ye gw‟aba ayagala era gw‟aba asiimye gw‟alonda Ye gw‟aba ayagala gw‟alonda, gw‟alonda Aggya mu kisa kye n‟alonda ,, ,, Tatunuulira bisaanyizo ,, ,, Tatunuulira bye tulina ,, ,, Aggya mu mukwano n‟alonda ,, ,, Aggya mu kisa kye n‟alonda ,, ,, |
3. | 3. Tatuwoomya buwoomya n‟obusaserdooti obwa bonna Naye alonda b‟ayagala ne bassibwako emikono Bagabane ku busaserdooti obukulembeze. (i) Beebo abazzaawo obuggya ekitambiro ekyanunula abantu (ii) Ne bategekera embaga ya Paska abantu be (iii)Ne babaliisa n‟Ekigambo kye ne babanyweza. |
4. | 4. Omuzadde omulungi ddala asaana kwebazanga Omutonzi – Omutonzi Omuzadde omulungi ddala asaana kwebazanga obutoosa – Obutoosa Atuwadde ebirungi ddala Katonda ow‟ekisa ennyo Omutonzi – Omutonzi Atuwadde ebirungi ddala Katonda ow‟ekisa ennyo atulyowa – Atulyowa Atuwadde ebirungi ddala Katonda ow‟ekisa ennyo atuwunda – Atuwunda. |
5. | 1. Tutendereze ekitiibwa kya Katonda n‟erinnya lye – n‟erinnya lye Tutendereze ekitiibwa kya Katonda n‟amaanyi ge – n‟amaanyi ge Atuwunda n‟obusaserdooti obw‟Omwana we – obw‟Omwana we Atulyowa n‟obusaserdooti obw‟Omwana we. |
6. | 2. Laba abanafu b‟atunuulira n‟alonda – n‟alonda Laba abatene b‟atunuulira n‟alonda – n‟alonda B‟aba alonze n‟abawoomya abo n‟akamala – n‟akamala B‟aba alonze n‟abiita abo n‟akamala. Wamma Omukama ddala atulyowa – Tumwebazenga Ddala atuwunda – Tumwebazenga Atuwunda n‟obusaserdooti obw‟Omwana we Atulyowa n‟obusaserdooti obw‟Omwana we. |
By: |