Indirimbo ya 370 mu CATHOLIC LUGANDA

370. ENNIMIRO


1.1. Ennimiro …………………………. Nga nnene bulala!
Ennimiro …………………………. Nnene nnyo bulala!
Ebikungulwa …………………….. Nga bingi bulala!
Amakungula ……………………… Nga mangi bulala! x2
Naye abakozi be b‟omunyoto
Naye abakozi be batamala. x2
2.2. Kristu anoonya, abuuza, aluwa anaamuyamba
Mu nnimiro …………………………… Nze nnaatuma ani?
Abuuza ……………………………… Nze nnaatuma ani?
Omukama abuuza ……………… Anaatuma ani?
3.3. Kristu Ssabasomesa oli ……. Akuyita
Kristu Ssabasomesa omukulu …. Y‟akuyita omuyambe mu nnimiro.
Ggwe bigere bye ………………… By‟atambuza
Ggwe ngalo ze ………………. Z‟akozesa
Ggwe maaso ge ………………. G‟alabisa, ggwe maaso ge
Ggwe ddoboozi lye ………… Eriwulikika
By‟oyogera ………………….. Biba bibye
Ggwe ddoboozi lye eriwulikika era ly‟akozesa.
4.4. Oli mubaka we, oli mutume we,
Oli mubiri gwe, gw‟akozesa …… Gobereranga enkola ye.
Oli mubaka we, oli mutume we,
Oli mubiri gwe, gwakozesa ……. Mufaanane mu mpisa zo.
Oli mubaka we, mubeere kimu, oli mubiri gwe gw‟akozesa.
5.5. Kristu atajja kuweerezebwa Oyo atajja kuweerezebwa naawe y‟akuyise.
Naye yajja kuweereza …. Oyo eyajja okuweereza naawe y‟akuyise
Kristu omwetowaze ……. Kristu omwetowaze anti y‟akuyise
Genda mu bwetowaze …. Genda mu bwetowaze Kristu gy‟akutumye.
Kristu omuwulize ……… Kristu omuwulize anti y‟akutumye.
Genda obe muwulize ….. Genda obe muwulize Kristu gy‟akutumye.
Kristu omwavu oyo …… Kristu omwavu oyo anti y‟akutumye.
Naawe mufaanane …….. Naawe mufaanane anti y‟akutumye.
Kristu Omutukuvu …….. Kristu Omutukuvu anti y‟akuyise.
Kristu mufaanane …….. Genda obe mubaka we, Omutukuvu
gy‟akutumye.
6.6. Kristu lwe lugero (lwe lugero) – Kristu kw‟olabira.
Anti yakutumye (y‟akutumye) – omuyambe mu nnimiro.
Gobereranga Omusumba (Omusumba) – atalundira mpeera.
Awaayo n‟obulamu (n‟obulamu) – olw‟okubeera obuliga.
Gobereranga Omusumba (Omusumba) – Kristu lwe Lugero
Tokoleranga mpeera (si mpeera) – teweekaanya mulimu.
Nga n‟emu ogiwondera (ng‟ogiwondera) ng‟owaayo n‟obulamu.
By: Fr. Expedito Magembe



Uri kuririmba: Indirimbo ya 370 mu Catholic luganda