Indirimbo ya 372 mu CATHOLIC LUGANDA
372. GENDA OLANGIRIRE EVANJILI
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Genda olangirire Evanjili, Genda omenyeemenye amawanga ogazze buto, Nkutaddewo tobatya bonna, Oli kigo ekinywevu, Wera ojja kuwangula. |
2. | 1. Nze Omukama nkutuma genda, Nze eyakukola nkutuma genda Oli Mulanzi ow‟amawanga gonna, Gaabuluze ogazimbe ogazze buto gansobedde, Gaabuluze ogazimbe ogazze buto. |
3. | 2. Nze Omukama nkutuma genda, Ekigambo kyo kitala kiikyo Oli Mulanzi ow‟amawanga gonna, Gaabuluze ogazimbe ogazze buto gansobedde, Gaabuluze ogazimbe ogazze buto. |
4. | 3. Nze Omukama nkutuma genda, Ng‟obabuulira yogeza maanyi, Oli Mulanzi ow‟amawanga gonna, Gaabuluze ogazimbe ogazze buto gansobedde, Gaabuluze ogazimbe ogazze buto. |
5. | 4. Nze Omukama nkutuma genda, Bakuvuvuba nkimanyi nywera Oli Mulanzi ow‟amawanga gonna, Gaabuluze ogazimbe ogazze buto gansobedde, Gaabuluze ogazimbe ogazze buto. |
By: |