Indirimbo ya 381 mu CATHOLIC LUGANDA
381. NZUUNO MUKAMA WANGE NTUUSE
Ekidd: | |
: Nzuuno Mukama wange ntuuse x2 Nzuuno Mukama wange ntuuse gw’olonze Onfudde mwana gw’obiita, nzuuno nzize, nzuuno nzize. Okukola ky’oyagala, nzuuno nzize. BASS: Nzuuno Mukama wange gw’olonze Nzuuno nzize, nzuuno nzize, ky’oyagala nzuuno nzize. | |
1. | 1. Katonda Taata nneeyanze, wamma kituufu onjagala nnyo Katonda w‟ensi ow‟obuyinza, nzenna nkusenze ndi mwana wo. |
2. | 2. Bubaka Taata bw‟ogambye, wamma bulungi mbwagala nnyo, Yonna gy‟abeera naabutuusa, ensi ekusinze Nnamugereka. |
3. | 3. Katonda wampa by‟oyagala, n‟Eddiini entuufu ne ngikwata, Nkusuubiza nnyo sigisuule, mponya sitaani annimbalimba. |
4. | 4. Ffenna tuyambe n‟amaanyi, tube eggwanga ery‟awamu, Tube kibiina ky‟onunudde, tutwale gy‟Oli, tuli baana bo. |
By: Leonard Kizza |