Indirimbo ya 384 mu CATHOLIC LUGANDA

384. TULI LUSE LULONDOBE


1.BASASERDOOTI BA NNGOMA
(Fr. Expedito Magembe)
Tuli luse lulondobe basaserdooti ba nngoma
Tuli luse lulondobe basaserdooti ba nngoma
Tuli luse lulondobe ggwanga lya Katonda
Bantu ba Katonda ab‟obwebange.
Ffe ggwanga lya Katonda ………… Ffe ggwanga lya Katonda eddonde.
Tuli bantu ba Katonda ……………..Abantu ba Katonda ab‟obwebange.
Ffe ggwanga lya Katonda ……….Ffe ggwanga lya Katonda eddonde.
Tuli luse lulondobe eggwanga lye ddala.
Tuli baana be Omukama ffe ggwanga lye, basaserdooti abaana b‟enngoma
Yatulondamu Omukama ye n‟atweyitira tubeere baana be ddala basaserdooti.
Tuli basaserdooti ffe okuweereza – Tuli basaserdooti ffe okuweereza;
Ebitambiro ebisanyusa Katonda – N‟okulangirira oyo Nnamugereka.
Tuli ggwanga lya Katonda – Tuli basaserdooti okuweereza;
Okulangirira wonna obutuukirivu bwe – N‟okulangirira oyo Nnamugereka.
Tuli Basaserdooti, tuli Basaserdooti …… Tuli Basaserdooti okuweereza
abaweere
Tutti: N‟okulangirira oyo Nnamugereka
N‟okulangirira oyo Nnamugereka
N‟okulangirira oyo Nnamugereka. x2
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 384 mu Catholic luganda