Indirimbo ya 4 mu CATHOLIC LUGANDA
4. GANO GANO AMAZZI
Ekidd: | |
: Gano gano amazzi ag’omukisa, Gatujjukiza gali aga Batismu mwe twabatizibwa, Gano gano amazzi amatukuvu, Gazza buto Batismu yaffe. | |
1. | Amazzi ga Batismu gatutukuza Amazzi ga Batismu gatutukuza Tutti: Ne tuzaalibwa obuggya mu Katonda Amazzi ga Batismu gatunaaza Amazzi ga Batismu gatunaaza Tutti: Gatufuula baana ba Katonda |
2. | Onommansaako amazzi Ayi Mukama onontukuza Ontukuze okusinga omuzira Ontukuze okusinga omuzira Nze kye nkusaba Mukama Ayi Mukama era nkusaba Ebibi byange obimmaleko Ebibi byange obimmaleko Otenderezebwe nnyo Kitaffe Ne Mwana ne Mwoyo Tutti: Emirembe n‟emirembe – AMIINA. |
By: Fr. Expedito Magembe |