Indirimbo ya 402 mu CATHOLIC LUGANDA
402. BULI KITONDE N’AKITONDA
1. | KINNABABIRYE (Alphonse Ssebunnya) Ekidd.: Mu masooka g’ensi, Bugingo n’atonda omusajja n’omukazi, N’abawunda n’abawoomya. Buli kitonde n’akitonda kinnababirye, ekisajja n’ekikazi nga bwe bufumbo. Mugirye ensi yonna mugibugaane, wamma yasiima Bw’atyo ddala Omutonzi ow’ensi bwe yasiima. |
2. | 1. Ssabasaasizi wasaasira omuntu n‟omuwa omubeezi we Nga ssi kirungi omuntu okubeera obw‟omu obwannamunigina. Ligulumizibwe erinnya lyo, ligulumizibwenga erinnya lyo, Eyagamba nti omuntu alireka kitaawe ne nnyina n‟anywereranga ku mukazi we tewali kugattululwa. |
3. | 2. Beesiimye abakwagala abakwata by‟ogamba ayi Omutonzi Omukazi olimufaananya omuzabbibu ogubala ennyo mu nnyumba ya bba Ng‟obulokolerwa bw‟Oliva n‟obwana bwe bube butyo. Omukisa gwa Sion guyiire Eklezia okutinta mu nsi y‟abalamu eno gye tulimu. |
4. | 3. Tukoowoola gy‟oli Ggwe, ayi Katonda wa Jjajja Yibraimu eyakkiriza, Tukoowoola gy‟oli Ggwe, ayi Katonda wa Jjajja Yizaake ne Yakobo Tukoowoola gy‟oli Ggwe, Eklezia abune ensi yonna mu kkubo ly‟obufumbo Ng‟abuna, ng‟abuna, ng‟abuna ng‟abuna. Tusazeewo, tusazeewo, tusazeewo x3 okubeera ababiri mu bufumbo Tukuume Ekigambo kya Katonda, nga mmwe bajulirwa Tetubaswaze; tusazeewo – tusazeewo, tujja kukuumagana. x2 |
By: |