Indirimbo ya 411 mu CATHOLIC LUGANDA
411. NKUKWASA MUNNO ONO
1. | 1. Nkukwasa munno ono, ng‟etteeka ly‟Omukama bwe ligamba, Nkukwasa munno oyo, ye mwannyoko era mukyala wo, Mutwale, mutwale ewammwe ng‟omutima gukuli wamu, Katonda ow‟omu ggulu abayambe, abakuume, mutambule bulungi mu ddembe. |
Ekidd: | |
: Katonda wa bajjajjaffe ogulumizibwe, otenderezebwe, Ggwe eyakola obufumbo ng’otonda byonna. Nkukwasa mwannyinaze ono omusaasire nange onsaasire, Ffembi otuwangaaze otutuuse ku bukadde obwegombwa. x2 | |
2. | 2. Endagaano y‟obufumbo, ng‟etteeka ly‟Omukama bwe ligamba, Endagaano y‟obufumbo gye mukuba era mu maaso ge, Muginyweze; muginyweze yiino ng‟omutima gubali wamu, Katonda w‟omu ggulu abayambe muginyweze, Mutambule bulungi mu ddembe. |
By: Fr. James Kabuye |