Indirimbo ya 417 mu CATHOLIC LUGANDA
417. ONO GWE NNONZE
Ekidd: | |
: Ono gwe nnonze – Mukama nkwanjulira Nze mmwesiimidde – era mmulagaanya Tujja kubeera wamu okutuusa lwe ndifa, Nga tuli omuntu omu tetukyagattululwa. | |
1. | 1. Ayi Mukama Mukama waffe mu nsi yonna yonna Lyewuunyizibwa erinnya lyo ekkulu eryo, Ggwe eyasukkulumya bw‟otyo ekitiibwa kyo N‟okikiza n‟eggulu. |
2. | 2. Ayi Mukama Mukama waffe abawere n‟abayonka Leero bagenda okuziyiza omulabe omuzigu, Mu kamwa kaabwe mwe wategeka Ettendo ly‟obalumbisa. |
3. | 3. Omwezi n‟emmunyeenye gwe bye wawangawo Bwe ndaba eggulu bwe liradde ndaba omulimu Ogukoleddwa n‟engalo zo ezo, Naye omuntu y‟ani naawe gw‟ojjukira N‟omussaako omwoyo. |
4. | 4. Ettendo n‟ekitiibwa wamutikkira, byonna y‟abitwala Wamuwa okulamula emikono gyo bye gikola, Wasukkulumya bw‟otyo obuyinza bwe N‟omufuza n‟ensolo. |
5. | 5. Beera n‟ekitiibwa Patri Katonda Ne Mwana kibe kikye awamu ne Mwoyo Mutuukirivu Nga bwe kyaliwo olubereberye na kaakano na bulijjo Emirembe n‟emirembe. Amiina. |
By: Fr. Vincent Bakkabulindi |