Indirimbo ya 421 mu CATHOLIC LUGANDA
421. ABAJULIZI AB’ETTENDO
Ekidd: | |
: Abajulizi ab’ettendo, bannaffe abazira mu Africa wakati Nga mwesiimye abeewaayo olw’eddiini, Nga mwesiimye mmwe abazira, mmwe abazira mu Uganda. Nga muli ne Yezu mutusabire, Tukwate naffe eddiini n’obuzira ng’obwammwe obw’ettendo. | |
1. | 1. Mukulike abazira, mukulike omuliro, obuzira obwammwe bwa ttendo, Mwanywera nga babatiisa, gwe mwasenga Katonda omu temwamuleka Tubakulisa okuwangula, Yezu mwamusanyusa n‟Eklezia yonna ebakulisa. 2. Mukulike abazira, mukulike ebizibu, okusibwa n‟enga bya ntiisa, Gwe mwasenga nga babanoonya, timwegaana Katonda omu nnyini bulam Tubakulisa okuwangula, Yezu mwamusanyusa n‟Eklezia yonna ebakulisa. |
2. | 3. Katonda yeebazibwe, Katonda ng‟akuuma, abatene nga mmwe ng‟anyweza, Twewuunya okwagala okwo, okwasukka ne mwewaayo ne babazisa, Tubakulisa okuwangula, Yezu mwamusanyusa n‟Eklezia yonna ebakulisa. |
3. | 4. Tuwondere abazira, ka tuwere abasoma, okusoma eddiini entuufu, Twegaane ebya sitaani, tumwekwate Katonda omu Nnantalemwa. Tulina kati okunyiikira, Yezu ffe be yeesiga, ffe Eklezia eva mu Bajulizi. |
By: Fr. James Kabuye |