Indirimbo ya 423 mu CATHOLIC LUGANDA
423. ABAVUBUKA
1. | 1. Abavubuka sso abangi baawa? Mu ggulu abatudde Yezu w‟atudde? Abaddugavu abato abalungi baani? Balenzi ki abo sso abanekaaneka. Ekidd.: Oh, Mutuyambe, bannaffe Abafirika ab’ettendo Oh, Mututuuse ewa Yezu Abaddugavu abeesiimye. |
2. | 2. Be bawanguzi abaafa ku lwa Yezu Omusaayi mu nsi ogwabwe abaawaayo; Be Baafirika be yatta Mwanga, Leero Omutonzi mwene ye abagulumiza. |
3. | 3. Ka mbayiteko amannya; nsooke ani? Omujaasi Lwanga ko nno ne banne Abajulizi Omukama Yezu Bonna bali makumi abiri na babiri. |
4. | 4. Abakiramu emyaka Mulumba; Kizito abasinga obwana atendwa nnyo Kaggwa, Kuketta, Kibuuka, Ggonza, Muzeeyi ne Mugagga, Kiriwawanvu ate. |
5. | 5. Ba Kiwanuka, Balikuddembe; Ba Ssebuggwaawo, ko Sserunkuuma oli; Ba Baanabakintu, Nngondwe, Buuza, Ba Mbaaga ne Ludigo ko ne Gyaviira ye. |
6. | 6. Kati ebulayo wuuno Mawaggali Ne Kiriggwajjo, olwo nga baggwaayo Abaayagala Omulokozi abo, Abaafa olw‟okugaana eddiini okugireka. |
7. | 7. Otuyambeko, Yezu Katonda, Ffe tukusaba nneema gye twetaaga Ey‟obuzira Abajulizi eyo Gye baafuna eyasukka naffe ogitujjuze. |
By: Joseph Kyagambiddwa |