Indirimbo ya 424 mu CATHOLIC LUGANDA
424. ABAZIRA ABAALUWANGULA
1. | (Benedicto Lubega) Ekidd.: Bass Soprano Ekidd.:Abazira be ndayira bannamige abo … Abaaluwangula Ffe be tutenda abo baalulwana Abaaluwangula olutalo Baalumala amaanyi Baalulwana baalulinnyako: Ne balulinnyako Abajulizi Abaluwangula Abajulizi Bannauganda Abaaluwangula Sitaani baamumegga Sitaani baamumegga Baamulinnyako Baamulinnyako Amazima ne bagalaga ensi eno Amazima ne bagalaga ensi eno. |
2. | 1. Kabaka Mwanga n‟abayigganya abasoma Abatte Era bo maama ne bateesasa Beebo Ne batekweka; Beebo Ne basoma nnyo eddiini obuteemotya Beebo Ne balulwana Bo, baabo. Ne balumegga olumbe nnamuzisa. |
3. | 2. Era ye Mukama omuzirakisa yalaba abaana Basomye eddiini ne bagimanya Beebo Olwo n‟abayamba Beebo N‟abawanga amaanyi obutayosa Beebo Ne bamuganza Bo, baabo. Ne basomanga eddiini obutagita. |
4. | 3. Abaasoma eddiini ne bagimanya nga bato nga ffe Tusabye naffe mutuyambeko Ffenna Tusimbe mu luwenda Ffenna Tulwane masajja nga mmwe abateemotya Ffenna Tubenga nammwe Ffe, baabo. Tubenga w’ali Kristu Omununuzi. |
5. | 4. Nga tuli nammwe abatakabanyi mu kitiibwa eyo Awamu ne Yezu eyabalagayo Ffenna Eri ne Kitaffe Ffenna Mu ggulu ddala eyo ewaffe etemagana Ffenna Tube mu kitiibwa Ffe, baabo. Gye tulyesiima ewaffe eri Lugaba. |
6. | 5. Mukama Yezu ggwe Omununuzi tolekanga ffe Abajja gy‟oli tube bagumu Ffenna Tube banywevu Ffenna Tube basajja nnyo nga tetwemotya Ffenna Tube babo Ggwe Ffe, baabo. Tubenga naawe Kristu Omununuzi. |
By: |