Indirimbo ya 43 mu CATHOLIC LUGANDA
43. MMWE AMAWANGA GONNA
Ekidd: | |
: Mmwe amawanga gonna musaanye mweddemu, Mutende mwenna Omukama Amawanga gonna mukube mu ngalo, Mwesiimye mmwe b’alyoye. | |
1. | Amawanga mwenna mmwe mukube mu ngalo, Musanyukire Katonda mu ddoboozi ery‟essanyu. |
2. | Kubanga Omukama asukkulumye wa ntiisa, Ye Kabaka Omukulu mu nsi gy‟ekoma. |
3. | Atulondera obusika bwaffe, Ekitiibwa kya Yakobo gw‟ayagala okuyinga. |
4. | Katonda afuga amawanga gonna, Katonda atudde ku Nnamulondo ye Entukuvu mumutende. |
5. | Abantu abatuwa ne batufuga. Amawanga agassa ku bigere byaffe. |
6. | Katonda alinnya mu kusanyuka, Omukama alinnya mu ddoboozi ery‟enngombe. |
7. | Muyimbire Katonda mmwe mumuyimbire, Muyimbire Kabaka waffe ku ntongooli endeege mumuyimbire. |
8. | Kubanga Kabaka w‟ensi yonna anti ye Katonda, Muyimbe oluyimba ku ntongooli Ddunda mumutende. |
By: Fr. James Kabuye |