Indirimbo ya 438 mu CATHOLIC LUGANDA
438. MMWE AB’EKITIIBWA
Ekidd: | |
: Mmwe, ab’ekitiibwa Mubugaanye essanyu mwesiimye, Tubawanjagidde, Mutuyambe mu kwerokola. | |
1. | 1. Ayi Mukama! Abajulizi, Be tutenda mu nnyimba zaffe, Baakukiza obulamu bwabwe, Baalabira ku Mununuzi. |
2. | 2. Ggwe wabawa okuwangula, Abambowa abakanga ddala, N‟obazibira nga balwana, Olutalo oluvannyuma. |
3. | 3. Abazira abaatufiirira, Tubatenda okukkiriza; Tubatenda n‟okusuubira, Era tubatenda okwagala. |
4. | 7. Baganda baffe Abajulizi, Tunyiikire okubeeyuna; Be baganzi b‟Omulokozi Tubasabenga okutujuna. |
By: W.F. |