Indirimbo ya 443 mu CATHOLIC LUGANDA
443. TETUKYADDA MABEGA
1. | Ffe bazzukulu b‟abo abasooka okukkiriza Kristu mu Uganda Tuli bazzukulu b‟Abajulizi: ffe ggwanga eppya erya Katonda mu Uganda Tetukyadda mabega – tetukyadda mabega. Ekidd.:Ababaka b’Omukama abaaleeta eddiini, laba be baatuwa ffe okukkiriza Baakola na maanyi nga bakuluusana abo, laba be baatuwa ffe amazima Tutambule ne Yezu mu kkubo ery’abatuufu, laba gwe baatuwa oyo atumala Baakola bulungi abo abaatema oluwenda, laba eddiini yiino etinta. |
2. | 1. Twebaze Katonda Nnannyini buyinza Oyo atuwadde ebingi Mu Uganda yonna Twebaze Katonda N‟omutima gwonna Akolera mu ffe N‟ayitiriza Yatuma abalangirizi Ne batumanyisa amazima Ne batuwa ekitangaala Ye Kristu oli Twebaze Katonda Emyaka kikumi ddu Nga ali wamu naffe Tuli baana be (Ababaka …) |
3. | 2. Omulimo gwe baakola abo gwali munene N‟ebirungi bye baatuwa wamma byali bikulu Okukkiriza kwe baatuwa abo baatema kkubo Ffe- abakkiriza mu Kristu wamma tuli mu ddene Baatuwa Mukama Yezu ne tumatira Tunyiikire okutuusa byonna by‟atulagira Ekigambo kya Mukama Yezu basiga ensigo Esaasaane Uganda yonna ebeere mu ssanyu (Ababaka …) |
4. | 3. Bingi mazima Bajjajja bye baatuteerawo Bonna baafuba n‟amaanyi nga tebeeganya Eddiini mazima yabassa abo abazira Bonna baalina kimu kyokka kya kunyiikira Naffe mazima kituufu ffe kye tulina Ffenna tusaana tufube nno okuwangula Sitaani amazima tumwegaane mu buli ngeri Ffenna tunywerere ku Yezu olw‟omukwano gwe Centenary ddala gye tukuza etusanyusa Kirabo kyava wa Kitaffe olw‟omukwano gwe. 4. Okumwebaza ddala okutuufu kwe kuwondera Bonna abazira abaasooka tubalabireko Naffe twevuma sitaani n‟emitego gye Leero twetema okutuusa ebiragiro Batismu – etubanja okunyiikira Ffenna – twogere kimu kyokka kya kuwangula Okunywerera ddala ku Yezu bwe buwanguzi Yezu tusaana tumunyweze atubeeremu Mu ffe nga ddala atubeera ng‟atulambika Leero ebijja gawanye byonna ng‟atuwanguza. TUMALIRIRE: Tweweeyo tweveemu – tweweeyo okuwondera Abazira Tweweeyo tweveemu mu kyasa ekiggya kye tulimu. Tuli baana ba Mapeera tumuwondera, Katonda ye yekka gwe tusinza Twasenga Kristu ne tuba babe, oyo ddala ye yekka gwe tunoonya Okwagala Kristu kutuwujja, laba ddala olwo ffenna twewaddeyo Okukkiriza okunywevu kwo ye ngabo, laba ddala ye yokka gye tukutte Twayambala Kristu tuli baggya – Kristu gwe tulonze emirembe N‟emirembe tetukyadda mabega. |
By: Fr. Expedito Magembe |