Indirimbo ya 452 mu CATHOLIC LUGANDA

452. TWANIRIZE


1.===Ekidd. I: Twanirize, twanirize,
Twanirize, twanirize.
1. Ani oyo Omugenyi w‟ettendo atuuse
,, ,, Omusumba w‟Abatume atuuse
,, ,, Omusumba omulungi owaffe
,, ,, Omutume w‟Omukama atuuse.
2.2. Twesiimye Omutume atuuse
Tweyanze Omusumba omulungi
Lw‟azze luno Anti aleese
Wano ewaffe Mwoyo w‟amaanyi.
Ekidd. II: Mmwe muyimbe – musaakaanye
Mmwe muyimbe – musaakaanye.
3.3. Kubanga Omusumba waffe wuuno
Atuuse Omusika wa Kristu Omukama
Kikuuno Omusumba w‟endiga wuuno
Ffe endiga zo Tukwagala nnyo ggwe Kitaffe.
Ekidd:
II: Mmwe muyimbe – musaakaanye
Mmwe muyimbe – musaakaanye.
4.4. Twesiimye Ayi Kristu
Tweyanze Omutume wa Kristu
By‟oyogera Eri ffe endiga zo
Tubikakasa Bigambo bya Yezu.
Ekidd. I: Twanirize, twanirize,
Twanirize, twanirize.
By: Ben Jjuuko



Uri kuririmba: Indirimbo ya 452 mu Catholic luganda