Indirimbo ya 466 mu CATHOLIC LUGANDA

466. MU NFUUFU MW’OLIDDA


1.(Ben Jjuuko)
Ekidd.:Muntu ggwe oli nfuufu
Muntu ggwe oli nfuufu
Mu nfuufu omwo mw’olidda.
2.1. Omubiri obubiri ogwo gw‟obiita,
Gwa kuvundira ddala ddala ogwo gw‟obiita!
Guggweewo gubule, guggweewo gwonna!
Okusuubira kwaffe kwe kuzuukira ffenna,
Kristu eyezuukiza yekka, naffe alituzuukiza.
3.2. Emikwano gy‟oku nsi kuno n‟ennganda,
Obugagga bw‟oku nsi kuno n‟obwami,
Ng‟obireka byonna aaa! Ng‟ogenda wekka.
Okusuubira kwaffe kwe kuzuukira ffenna,
Kristu eyezuukiza yekka, naffe alituzuukiza.
4.3. Obulamu obw‟oku nsi eno bw‟oyagala
Bwa luwunguko ddala ddala owoluganda,
Ggw‟asanyuka leero oo! Amangu ago ofa, aa!
Okusuubira kwaffe kwe kuzuukira ffenna,
Kristu eyezuukiza yekka, naffe alituzuukiza.
5.4. By‟okunngaanya owoluganda,
Obirekerera n‟ogenda
Ogenda wekka aa! Obireka byonna aa!
Okusuubira kwaffe kwe kuzuukira ffenna,
Kristu eyezuukiza yekka, naffe alituzuukiza.
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 466 mu Catholic luganda