Indirimbo ya 473 mu CATHOLIC LUGANDA
473. TULIZUUKIRA
Ekidd: | |
: Tulizuukira, ffenna tulizuukira Tulizuukira ffe mu kitiibwa kya Yezu Ku lw’oluvannyuma, kw’olwo. x2 | |
1. | 1. Nga Kitaffe bwe yazuukiza Omuweereza we oyo Yezu, Naffe twesiga, era tukakasa, Ffenna abamumanyi, ng‟alituzuukiza! |
2. | 2. Ng‟omukama bwe yayogera, nga ye w‟obuyinza obungi; Naffe twesiga, era tukakasa, Ffenna abamumanyi, ng‟alituzuukiza! |
3. | 3. Yezu Mukama yayogera, nti: Omuweereza we ng‟afudde, Tafa bumbula, kuba alizuukira, Ng‟ensi eno eweddewo, ku lwoluvannyuma. |
4. | 4. Yezu Mukama yayogera, nti: Omugaati gw‟awa gwa maanyi Anti gw‟ofuna ye Yezu Mukama, Ajja okuzuukiza bonna abo b‟amanyi. |
By: Fr. James Kabuye |