Indirimbo ya 477 mu CATHOLIC LUGANDA
477. ABAFUGA EKLEZIA
Ekidd: | |
:Abafuga Eklezia Okubeera Katonda Byonna bye balagira Tujjanga kubikwata. | |
1. | 1. Ennaku ez‟etteeka Mu Buganda ziri nnya, Ozinyiikiriranga Nga Sande bw‟esomebwa |
2. | 2. Ennaku ezo zonna; Onojjanga mu Missa Ng‟ogibeeramu yonna, Ekibi n‟okiwona. |
3. | 3. Ojjukiranga etteeka Erya Penitensia; Libaawo buli mwaka, N‟abato libakwata. |
By: W.F. |