Indirimbo ya 481 mu CATHOLIC LUGANDA
481. AYI OMUTIMA GWA NNYAFFE
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Ayi Omutima gwa Nnyaffe Maria Omuddaabiriza, nzuuno nkwekwasizza. Ayi Omutima gwa Nnyaffe Maria Omuddaabiriza, nzuuno nkwewadde. |
2. | I. Njagala mu Ggwe mwe mba mbeera nga ndi wamu naawe, ntuuse bye nsuubiza, Batismu yange gye nziramu mu mutima gwo, Mmange nnyamba edde buto. Okwagala mu Ggwe kwe nnoonya mu mutima gwo, Mmange nnyamba nkutuukeko, Omulimu gw‟Obutume gwe nnoonya mu mutima gwo, Mmange nnyamba ng‟onkwatirako. Omulimu gw‟okuddaabiriza gwe nneetemye, Mmange nnyambanga Onkwatireko. |
3. | II. a. Ekitambiro ky‟obulamu bwange mu Ggwe mwe mba nkituukiriza ku lwa bannange, nange Omukama asiime. Ekidd.: Nkwesingira Mmange onkuume ng’omwana ku mugongo Nkwesingira Mmange onnyambe, mu mutima gwo mwe mba mbeera. b. Omulimu gw‟okuddaabiriza ku lwa bannange, nange Omukama asiime Ekidd.: Nkwesingira ….. c. Omulimu gw‟okulokola mu Ggwe mwe mba ngutuukiriza ku lwa bannange nange Omukama asiime. Ekidd.: Nkwesingira ….. |
4. | III. Maria nzuuno Mbikkirira n‟omunagiro gw‟obulamu Nzuuno onkuume Mbikkirira n‟obuzadde bw‟onninako Obulamu bwange ,, ,, Maama mbukuwadde ,, ,, Byonna ebyo byange ,, ,, Maama mbikuwadde ,, ,, Okulokoka okwange ,, ,, Maama nkukukwasa ,, ,, Mu kutegana okwange Mbikkirira n‟omunagiro gw‟obulamu Mu bunaku obwange Mbikkirira n‟obuzadde bw‟onninako Onnyambe Maria ,, ,, Ontuuse gy‟Ali ,, ,, Omulokozi Yezu ,, ,, Ontuuse gy‟Ali ,, ,, |
By: |