Indirimbo ya 485 mu CATHOLIC LUGANDA
485. EKLEZIA
1. | // Eklezia …. Eklezia …. Eklezia …. Eklezia // 1. Eklezia, Eklezia …. Nnyaffe akoowoola, akoowoola, akoowoola Abatonde ffenna, ng‟atulaga Katonda waffe, Ng‟atulaga baganda baffe Ayagala aboluganda tusse kimu Atujjukiza gye twava ffenna Atulaga oluganda lwaffe Atutabaganya atutwale mu Ggulu // Eklezia …. Eklezia …. Eklezia …. Eklezia. // |
2. | 2. // Lwaki akoowoola abantu, nze naawe, ne munno oyo gundi, Lwaki akoowoola abantu? // 3. // Kubanga waliwo ebitasaanye, EBIKYAMU by‟ayagala tugolole, Kituufu waliwo ebitatuuse, EBIKYAMU bye tuteekwa okuleka. // |
3. | 4. // Mwoyo Mutuukirivu Omukubagiza afuuyirira ne tutangaala // // Eklezia awabula …. Abajeemu Eklezia akomako …. Ke kadde Eklezia mulanzi …. Mukomeewo eri Kitaffe Katonda ke kadde Eklezia agamba …. Nti: Tojeema okuva kati togeza. // |
4. | 5. // Aboluganda …. Okwagala kulemye nfaafa Obukyayi …… Obukyayi bwatta dda ensi Emirembe ….. Bannaffe tukaabya bakaabye Emisango ….. Emisango tuzza ntakera Ebya bandi …… Ebyo nabyo tutwala butwazi Ekyomuwendo ….. Obulamu muzannyo nga kigwo. |
5. | 6. Buli avaayo yefaako yekka bw‟ati: // Teri mulala ku nsi …… Nze nzekka Ne Katonda taliiwo ……. Nze nzekka Njagala nsigale bwe nti …… Nze nzekka. // |
6. | 7. // Sso tulina Katonda omu …… Atweyagaza Eyakola byonna …….. bye tweyamba Kyokka tugudde mu ntata ….. Ffe abeepanka Twezze buto ffenna ….. Tubeere balungi Eklezia …. Eklezia …. Eklezia …. Eklezia. x2 |
By: Fr. Vincent Bakkabulindi |