Indirimbo ya 486 mu CATHOLIC LUGANDA
486. ESSAAWA ENTUKUVU
Ekidd: | |
: Abantu tulumwa olwa Yezu, Ye wuuyo eyattibwa ku nsi Ffe abantu abaasobya olw’ekyejo Yatufuula ffenna baana. | |
1. | 1. Yalina ennaku emusogga, Ng‟ali yekka bw‟ati ekiro, Obw‟omu zamuyinga Yezu, Ng‟alowooza ku ffe aboolo. |
2. | 2. Amangu baasiba oyo Yezu, Ne bakwata ekkubo bonna, Ku lwe yeewa abo abasajja, Bonna abajja eyo gy‟ali. |
3. | 3. Ewa Pilato gye yasooka, Abaayo baamukonjera, Ne baleeta bingi ebijinge, Ensonga entuufu temwali. |
4. | 4. Baamussaako amaggwa amawanvu, Ne bagunuubula omutwe, Ne bamukuba n‟obuswanyu, Atalina oyo gwe yazza! |
By: W.F. |