Indirimbo ya 487 mu CATHOLIC LUGANDA
487. GGWE KATONDA TWATULA
1. | 1. Ggwe Katonda twatula Ow‟erinnya Nnantayimbwa, Ggwe muyinza twesiga, Omuzadde mmo mutiibwa, Ggwe basinza mu ggulu Mw‟ofuga n‟ettutumu. |
2. | 2. Abaserafimu sso Ggwe batwaza okuyimba Eddoboozi ly‟eggono! Ffenna twaza okuyimba Okutenda Ggwe nnyini Atabangako kabi. |
3. | 5. Mu nkulungo – nsi fuga: Gwe Kitaffe, omuyozi Atutwala n‟ekisa; Mu kibiina Ggwe ye mboozi Ggwe kkula lye beebaza, Ggwe kigo kye beesiga. |
4. | 7. Naawe Mwoyo muzza – nsa: Ffe wasiiga ku Katonda, Otuwomye empeereza, Ne tuteeganya kugonda, Wonna twetaleetale; Lunnabe gumweyiwe. |
By: M.H. |