Indirimbo ya 490 mu CATHOLIC LUGANDA

490. KU LWAFFE KATONDA


1.1. Ku lwaffe, Katonda waffe
Yayiwa Omusaayi gwe
Okusaanya ebibi byaffe,
Byonna bitusonyiyibwe.
Ffe abakristu tulire nnyo
Nga twekkaanya Omukama
Nga tulowooza mu mwoyo
Ennaku ze yalaba.
2.2. Ng‟atuuse e Getesemani
N‟agamba ng‟azirika,
“Kitange mpweddemu amaanyi
Omponye omusalaba.”
Naye olw‟okutwagala ennyo,
N‟amugamba nti: Ssebo,
Kola Ggwe ky‟onjagaliza,
Tokola kye njagala.
3.3. Omutume omulyakuzi
N‟atuuka ku Mukama,
N‟alamusa Omulokozi,
N‟amugwa mu kifuba,
Awo Yezu n‟amubuuza:
“Ekikuleese wano?
Gwe nnayita ow‟omukwano
Ompaayo ng‟onnywegera!”
4.7. Ne bamuzingira amaggwa:
Ye ngule ya Kabaka;
Baagimusimba mu kyenyi,
N‟atiiriika omusaayi.
Ffe ababi nga titufaayo
Kulowooza mu mwoyo
Omukama bwe yalumwa
Ng‟atwagalira ddala.
5.9. Omutonzi n‟alabika
Mu kaseera ak‟okufa,
Ensi yonna n‟ekankana,
Enjazi ne zaatika.
Omulokozi bwe yafa,
Byonna, byonna byakaaba.
Naffe nno, tubonerere,
Olwaleero twenenye.
By: W.F.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 490 mu Catholic luganda