Indirimbo ya 492 mu CATHOLIC LUGANDA
492. MMWE ABANGOBERERA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Mmwe abangoberera, sikyabayitanga Mmwe baddu n’akamu – Yee Mbayita mikwano gyange – Nze nnabalonda mmwe ne mbaganza mbayita balangira. |
2. | 1. Mwaleka ebirungi – Mwenna mwaleka ebirungi ne mujja. Mwaleka abazadde – Mwenna mwaleka abazadde ne mujja. |
3. | 2. Mwaleka amaka ago – Mwenna mwaleka amaka ago ne mujja. Mwaleka ebibanja – Mwenna mwaleka ebibanja ne mujja. |
4. | 3. Mwaleka obugagga – Mwenna mwaleka obugagga ne mujja. Mwaleka ebitiibwa – Mwenna mwaleka ebitiibwa ne mujja. |
5. | 4. Mujje mu kitiibwa – Mwenna abaaleka ebitiibwa ne mujja. Kitange k‟abaweere – Mwenna Taata k‟abaweere Omutonzi. |
By: |