Indirimbo ya 5 mu CATHOLIC LUGANDA

5. HA! NNAMULONDO YO NNUNGI


Ekidd:
: Ha! Nnamulondo yo nnungi,
Ayi Mukama, n’Omwaliiro kw’etudde gutenngeenya,
Nneegomba okubeera awo awali ggwe, nga nsinza
Bwe ntyo nga ntenda obuyinza bwo.
1.Tuzze wuwo olwaleero
-Tusinze wamu ffe b‟olunda ab‟enda emu.
Mu Kiggwa kyo Mukama owaffe
-Taata tukkirize Tutuuke awo ku mwaliiro.
2.Ggwe owaffe
-Ffe abasobya ne tukunyiiza buli lukya ate ne luziba.
Twekembe ensobi tuzikyawe
-Tuyubule, Taata otuzze buto wano – mu Missa yo.
3.Twebaza nnyo by’otuwadde
-Enneema z‟otuwa tuzisiimye ak‟ensusso
-Ka tubikyawe ebibi byaffe ebyo
-Taata tusonyiwe,
ffe tubikyawe leero ne bulijjo.
4.Nga tussa kimu
– mu Missa yo leero Gano Agansanyusa
– ag‟ekigambo kyo ekitubuulirira.
Tusiibe nago mawulire malungi olw‟okwagala,
n‟okukutenda ggwe Nnamugereka.
5.Omutenza-ggulu Kawamigero
– Ffe abali ekimu ne Kristu Yezu,
Omwana wo. Mwoyo wo akke gye tuli
Omukubagiza owaffe tudde eka nga tuli bumu
– ku lw‟ekitiibwa kyo, AMIINA.
By: Alphonse Ssebunnya



Uri kuririmba: Indirimbo ya 5 mu Catholic luganda