Indirimbo ya 502 mu CATHOLIC LUGANDA
502. OSINZANGA KATONDA
1. | 1. Osinzanga Katonda 3. Ku Sande onyiikiranga Ye yekka ye Mukama; Okwegayirira ennyo; Atumalira byonna Notokola mirimo, Emmandwa n‟ozeegaana. Katonda gye yagaana. Ekidd.: Katonda gwe twagala, Byonna by’atulagira Tubisiimira ddala, Tujjanga kubikwata. |
2. | 2. Lekanga kulayira 4. Bakadde bo obatyanga Ng‟ojulira Katonda Okubeera Katonda; Mu nsonga ezitaliimu Bw‟onoobawuliranga Kubanga ye Mukulu. Tolisubwa mukisa. |
3. | 5. Okutta togezanga Era tosunguwala, Tokozesanga ttima, Obeeranga n‟ekisa |
4. | 6. Emboozi z‟obukaba N‟emizannyo egizira, Ebyo nno ng‟obireka Bulijjo wekuumenga. |
5. | 7. Ng‟otunda toseeranga, Toliikanga ne banno; Sasulanga amabanja. Ebibbe obizzangayo. |
By: W.F. |