Indirimbo ya 503 mu CATHOLIC LUGANDA
503. TOMA LEKA EMPAKA EZO
1. | (Mr. Joseph Kyagambiddwa) 1. Toma leka empaka ezo, Ffe anti twalabye Omukama Mulamu Yezu, eyafa, eyattibwa! Ekidd.: Kristu azuukidde, amenye amagombe! Kristu azuukidde, amenye amagombe! Kristu azuukidde, amenye amagombe! Ng’ayakaayaka, ng’atemagana, Yezu leero azuukidde! Omuwanguzi Kristu lw’agobye lwa ssanyu na kitiibwa! Yezu omugobi olumbe lw’agobye alusse. Kristu eyaakafa, baaba! N’okuziikibwa eyakaziikibwa, baaba! N’okuzuukira eyakazuukira, baaba! Kristu Yezu! Alleluia! |
2. | 2. Toma leka kugaana Genda, tolema, kkiriza Nze Yoanna gye nkedde ne ndaba. 3. Buuza oyo Madalena Anti by‟anyumya binyuma! Mu malaalo gye nkedde ne ndaba. |
3. | 4. Toma, leka kukyala! Linda, ojje olabe Omukama! Yeerage gy‟oli ng‟azze gw‟ojula! |
4. | 5. Toma, kati laba eno Wuuno, gw‟omanyi ali wano; Akutuuse nno, empaka zikomye! |
5. | 6. Kwata ggwe ku biwundu Yezu enkovu ze ziraga: Nga ye Ye ow‟edda omulamu tteke! |
6. | 7. Toma, kati omatidde! Ggwe nno atalabye, akkiriza, Olina okwesiima, era otendebwa! |
7. | 8. Ggwe Mukama omuyinza Ggwe Katonda, Ggwe nsibuko! Ffe tube naawe, sigala wano! |
By: |