Indirimbo ya 508 mu CATHOLIC LUGANDA

508. YE GGWE KATONDA


Ekidd:
:Ye ggwe Katonda wa Bajjajjaffe bonna
Kagingo eyaliwo ebbanga lyonna
Ye Ggwe Katonda, ye Ggwe Katonda,
Ye Ggwe Katonda w’emirembe, emirembe n’emirembe.
Tuli ggwanga lyo, tuli baana bo, tuli bantu bo emirembe. x2
1.1. Munaabanga bantu bange mmwe,
Bwe munaakwata nze bye mbalagira byonna.
Mukazenga omukwano gwange mmwe,
Endagaano gye nkoze kati nammwe
Terimenyeka, terimenyeka emirembe n‟emirembe.
2.2. Munaabanga ggwanga lyange mmwe,
Bwe munaawulira nze bye mbakuutira byonna,
Mugakwate amateeka gange mmwe,
Leero muli ggwanga lye nfuga eddonde
Nze mbatwala, siribaleka, emirembe n‟emirembe.
3.3. Munaabanga bantu bange mmwe,
Gye munaagenda ku nkingi z‟ensi eno yonna,
Mukazenga omukwano gwange mmwe,
Bonna bamanye Omulokozi Ddunda,
N‟oyo gwe ntumye, Yezu abe nammwe,
Mwoyo gwe ntumye Katonda
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 508 mu Catholic luganda