Indirimbo ya 60 mu CATHOLIC LUGANDA
60. TUGULUMIZE OMUKAMA
Ekidd: | |
: Tugulumize Omukama Katonda w’Amagye Alwana entalo ezo n’azigoba, n’azirinnyako, Zonna n’azirinnyako. Abaana be abayamba, Ffe abaana be atukuuma, Mukama owaffe ono, Nnyini Omuyinza! Abaana be abayamba, ffe abaana be atukuuma, Mukama owaffe ono, Mukama owaffe ono gwe tusinza. | |
1. | Nkoowoola ensi zonna: Katonda ky‟akoze Muyimbire Omukama oluyimba oluggya Katonda wa kisa. Anti wa kitiibwa mu nsi. Katonda w‟Amagye! |
2. | Asinga balubaale bonna Katonda w‟Amagye Ye yekka Omukama omuyinza ow‟edda Katonda w‟Amagye Anti ye yatonda byonna. N‟abiteekawo! |
3. | Ettendo tumuwe, tuyimbe Katonda w‟Amagye Ffe tukube emizira, tumuwe ekitiibwa Egy‟okumukumu! Anti ye Mutonzi waffe. Nnyini bulamu! |
4. | Ensi eno ekankane, etegeere. Katonda ky‟akoze! Ono omu Omukama ayolese ekitiibwa N‟obuyinza bwe! Anti y‟alamula byonna. N‟obulungi bwe! |
5. | Ennyanja n‟emiti, mubuuke Katonda ky‟asaba! Ggulu nalyo Omukama limuwe ekitiibwa Katonda w‟Amagye! Naffe tumutende ffenna. Katonda w‟Amagye! |
By: Fr. Joseph Namukangula |