Indirimbo ya 61 mu CATHOLIC LUGANDA

61. TUKWEBAZA TRINITA KATONDA OMU


Ekidd:
: Tukwebaza Trinita Katonda Omu
Bye wakola bya kitiibwa nnyo, weebale!
1.Mwebaze Omukama, kubanga mulungi
Ekisa kye kya mirembe gyonna!
2.Ka abatya Omukama bonna bagambe nti:
Ekisa kye kya mirembe gyonna!
3.Mu nnaku nnakoowoola Omukama.
Omukama yampulira n‟amponya.
4.Omukama ali nange, ye muyambi wange,
Nange nnaalaba abalabe bange bwe baswala.
5.Okweyuna eri Omukama kirungi
Okusinga okwesiga omuntu ono!
6.Omukama ge maanyi gange bwe buzira bwange,
Y‟anfuukidde Omulokozi:
7.Ddyo w‟Omukama akoze ebyamaanyi,
Ddyo w‟Omukama ansitudde,
Ddyo w‟Omukama akozezza maanyi.
8.Sijja kufa, nja kulama,
Ndirojja ebikolwa by‟Omukama.
9.Munzigulirewo emiryango gy‟obutuufu,
Mwe mba mpita nnyingire, nneebaze Omukama.
10.Guno gwe mulyango gw‟Omukama,
Abatuufu be baliguyitamu okuyingira.
11.Luno lwe lunaku Omukama lw‟akoze,
Tulujagulizeemu, tulusanyukiremu ffe.
12.Ayi Mukama, ndokola,
Ayi Mukama leeta emirembe gyo.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 61 mu Catholic luganda