Indirimbo ya 64 mu CATHOLIC LUGANDA
64. YEZU YATWAGALA
Ekidd: | |
: Yezu yatwagala Yatwagala Yezu n’ayitiriza N’ayitiriza Yezu Yaganza be yalonda n’ayitiriza. N’ayitiriza. | |
1. | Ku olwo yatwagala Yezu n‟ayitiriza Okutwewa kye kirabo kye yalondawo Ka tumwebaze Omukama olw‟omukwano gwe. |
2. | Yatugamba ewa Kitaawe ebifo gye biri Bye yategeka olw‟abo be yalondamu Babeere ne Katonda oyo mu kitiibwa kye. |
3. | Yatugamba talituleka bamulekwa N‟atusuubiza okutuwa Mwoyo atugumye Bwe yasuubiza Abatume n‟abamumanyi. |
4. | Yatulagira ffenna okwagalana, N‟atulagira okukola kye yali akoze Bwe yakuutira Abatume n‟abamumanyi. |
5. | Bwe yali addayo Abatume ng‟abasiibula N‟abasigira byonna n‟Obuyinza bwe Kwe kubasaba okukola kye yali akoze. |
6. | Mulye ku Mugaati guno ogw‟olubeerera Munywe ku Kikompe kino ekisonyiyisa Kye Kitambiro ekiggya kye mbaleetera. |
By: Fr. Expedito Magembe |