Indirimbo ya 68 mu CATHOLIC LUGANDA
68. AYI KATONDA OMU KKIRIZA
Ekidd: | |
: Ayi Katonda Omu kkiriza, omugaati n’evviini eno Ssiima bino ebirabo byaffe, biibyo ebiva mu bantu bo. | |
1. | Tukuweereza Emissa eno, ffe nga tujjukira Yezu oyo Bwe yatambira, n‟okuzuukira ng‟avudde mu ntaana oyo N‟okulinnya eyo gy‟oli Ggwe mu ggulu. |
2. | Tukuweereza Emissa eno, ffe nga tujjukira bw‟oganza Ffenna abantu bo, kuba olw‟abantu wateesa afe Omwana, gwe wazaala Yezu oyo omu ati yekka. |
3. | Tukuweereza Emissa eno, ffenna tuwanjaga gy‟oli eyo ffe Tusaasire, twasobya mu bingi Ddunda olw‟ekyejo, Ggwe tuwe enneema ey‟okuva mu nsobi. |
By: Fr. James Kabuye |