Indirimbo ya 71 mu CATHOLIC LUGANDA
71. BYEBYO, EBIRABO BYANGE
Ekidd: | |
: Byebyo, ebirabo byange bye ndeese gy’oli Ddunda, Ggwe Lugaba nnyini byo x2 Okukulaga nga bwe nsiima, Ebirungi by’ompa nze omwavu, ng’oli wa kisa Ddunda. | |
1. | Bass Tenor: Ebirabo byange bye ndeese, Ggwe Lugaba nnyini byo, Nga bwe nsiima, nze omwavu, Ng’oli wa kisa Ddunda. |
2. | Nnaakuddiza ki Ggwe Ddunda? Nnaakuddiza ki Ggwe annyambye? Ka ntoole ku byongabira, ka ntoole, ku by‟oku nsi Mbikuddize nange nkwewa, nze ndi wuwo. |
3. | Nnaakuddiza ki Ggwe Ddunda? Nnaakuddiza ki nze omwavu? Ka ndeete omugaati guno ka ndeete eno evviini, Evudde mu nsi eno eyaffe gye tulimye. |
4. | Nnaakuddiza ki nze ekiggya? Nnaakuddiza ki leero nze? Ka ntoole ku byongabira, ka ndeete byonna byonna, Nkuwa kati obulamu obwange NZE NDI WUWO. |
5. | Nnaakuddiza ki Ggwe Ddunda? Nnaakuddiza ki Ggwe antonda? Ka ndeete ebyokuyita, ka ntoole Ggwe by‟ompadde, Mbikuddize nange nzuuno, NZE NDI WUWO. |
6. | Nnaakuddiza ki nze nange? Nnaakuddiza ki Ggwe ankuuma? Ka nnyimbe nze gw‟ogabira, ka ntende Ggwe by‟ompadde Laba kati nange nkwewa, NZE NDI WUWO. |
By: Fr. James Kabuye |