Indirimbo ya 83 mu CATHOLIC LUGANDA

83. NNAMUGEREKA ATUWA EBIRUNGI


1.Nnamugereka atuwa ebirungi A! Lugaba Nnamugereka
Nnamugereka tumwebaze ffe –
Ka tumutwalire ku bino ebyaffe
Ku by‟atugabira tumuddize ffe
2.Mujje tubitwale
Tubitwale gy‟ali
Omukama abisiime
Ebivudde mu ffe x2
3.===Nnamugereka agaba ebirungi A! Lugaba Nnamugereka
Nnamugereka tumuddize ffe
Ffe abamutonera tumwewe naffe
Alyoke asiime bye tutona ebyo
Nnamugereka omulungi bw‟atyo
Buli k‟olina mutonere ggwe
Nnamugereka omulungi bw‟atyo
N‟obulamu bwo bumuddize oyo
4.Mujje tubitwale
Tubitwale gy‟ali
Omukama abisiime
Ebivudde mu ffe x2
5.Twanguweko tugende gy‟ali
Nga tuli kimu ffenna atusiime
Oyo gw‟omanyi ng‟era omukyaye
Ky‟akusaba musonyiwe oyo
Alyoke asiime ekirabo ky‟owa
Ekimusanyusa era ekiwooma
6.Mujje tubitwale
Tubitwale gy‟ali
Omukama abisiime
Ebivudde mu ffe. x2
7.Weebale weebale Ssebo Lugaba weebale -Tweyanzizza
Weebale, weebale atuwa ebingi tumwebaze. -Tweyanzizza, tweyanzizza,
-Tweyanzizza Lugaba, weebale,tweyanzizza.
8.Weebale weebale Ssebo Taata weebale
Ffenna twogera kimu Ssebo nti weebale.
9.Weebale weebale Ssebo Taata weebale
Ffenna tuli mu ssanyu Ssebo okukwebaza.
10.Weebale weebale Ssebo obulamu bw‟otuwa
Anti tuli mu ssanyu Ssebo okukwebaza.
11.By‟otugabira bingi weebale
Naffe tusaana tuyimbe Ssebo okukwebaza.
12.Weebale weebale Ssebo Taata weebale
Ffenna twogera kimu Ssebo nti wee
By: Fr. Expedito Magembe



Uri kuririmba: Indirimbo ya 83 mu Catholic luganda