Indirimbo ya 89 mu CATHOLIC LUGANDA
89. TOJJANGA MU MAASO GA MUKAMA NGALO NSA
Ekidd: | |
: Tojjanga mu maaso ga Mukama ngalo nsa, Tojjanga mu maaso ga Mukama ngalo nsa, Anti akuwadde byonna y’akusaba naawe omuddize ku by’akuwadde, Jjukira nti ekirabo ky’omutuufu, kye kinyiriza Altari, N’akawoowo kaakyo katuuka n’eyo mu ggulu, ne kasanyusa Omutonzi. Jangu leeta ekirabo kyo, jangu leeta ekitone kyo. x2 | |
1. | Sanyusanga Omukama akuwadde byonna, ng‟owaayo ekirabo kyo Ekisooka, ku ebyo by‟olimye, Kubanga ye Mukama, y‟abikuwa, Y‟abitegeka y‟akusaba omuddize ku ebyo by‟ofunye. Jjukira nti ekirabo kyo ekisooka, kwe kukwata by‟agamba n‟okumwagala Ennyo, n‟omutima gwo gwonna. |
2. | Sanyusanga Omukama akuwadde byonna, ng‟owa n‟omutima gwo Omulamba, ku ebyo by‟ofunye, nga wenna osanyuka, abikuwa, abitegeka, Y‟akusaba omuddize, leeta by‟ofunye. Jjukira nti ekirabo kyo ekisooka, kwe kukwata by‟agamba n‟okumwagala Ennyo n‟omutima gwo gwonna. |
3. | Sanyusanga Omukama akuwadde byonna, ng‟owaayo obulamu bwo Obulamba, Ddunda bw‟akuwa, ggwe buddize Omukama, y‟abukuwa, Y‟abutegeka, y‟akusaba omuddize weewe gw‟omanyi. Jjukira nti ekirabo kyo ekisooka, kwe kukwata by‟agamba, n‟okumwagala Ennyo n‟omutima gwo gwonna. |
4. | Sanyusanga Omukama ………. Beera mugabi, beera mugabi N‟ebirabo ebirungi ng‟oleeta …. Beera mugabi, beera mugabi By‟osimbye ebirungi ng‟oleeta …. ,, ,, By‟otunze ebirungi ng‟oleeta ….. ,, ,, Gw‟osimbye omugaati ng‟oleeta …. ,, ,, N‟evviini ekoleddwa ng‟oleeta …… ,, ,, N‟omutima omugabi ng‟ossa okwo … ,, ,, |
By: Fr. James Kabuye |